Skip to content

Namagembe

Popularity ยท Low

YouTube

Searching YouTube...

Lyrics

Namagembe oliwa? Ng'oluddeyo nnyo eyo gy'oli! Laba ndi wano nkulinze Nindiridde owange Nze gwe nasiima mu bangi Ate anti bulijjo Weetegerezanga nnyo abantu Bwe mutabagana obulungi Ababawalana lwe baba abangi Ne babalemesa omukwano Jjukira luli Lwe twali ffembi Ng'abatulaba, balaba bubi Olw'okuba nti ffe tussa kimu Ne tubalemesa aah ah Weyongere wano Tobaliraana bali Tobaliraana ab'okukulumya Abo abakolerera okukulumya Baveeko baviire eeh eh Ooh oh, aah ah Nkwagala Nkwagala Mpisibwa bubi bwe buziba Mpisibwa bubi Ne bukya nga sikulabyeko Nkwagala Nkwagala Kimalamu amaanyi Mpisibwa bubi Bwe mba sikulabyeko, oh oh Mukwano Namagembe Nkwagala Nkwagala nnyo tondekangawo Mpisibwa bubi Nga sikulabyeko Bwe mba ne bye nkola, tebigenda Nsula bubi nnyo nze Nkwagala N'otulo ne tubula Mpisibwa bubi Bwe mba sikulabyeko Ate anti bulijjo Weetegerezanga nnyo abantu Bwe mutabagana obulungi Ababawalana lwe baba abangi Ne babalemesa omukwano Jjukira luli Lwe twali ffembi Ng'abatulaba, balaba bubi Olw'okuba nti ffe tussa kimu Ne tubalemesa aah ah Weyongere wano Tobaliraana bali Tobaliraana ab'okukulumya Abo abakolerera okukulumya Baveeko baviire eeh eh Tondekangawo Nkwagala Mpulira bubi Mpisibwa bubi Nga sikulabyeko Mukwano Namagembe Tondekangawo Nkwagala Mpulira bubi Mpisibwa bubi Bwe mba sikulabyeko Mukwano Namagembe Nkwagala Nkwagala nnyo tondekangawo Mpisibwa bubi Nga sikulabyeko Nsula bubi Nkwagala N'otulo ne tubula Mpisibwa bubi Bwe mba sikulabyeko Nsula bubi nnyo nze Nkwagala